1 Samuel 7:5-17

5 aSamwiri n’ayogera nti, “Mukuŋŋaanye Isirayiri yenna e Mizupa, mbegayiririre eri Mukama.” 6 bBwe baali bakuŋŋaanidde e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagayirira mu maaso ga Mukama, ne basiiba era ne baatula ebibi byabwe nga boogera nti, “Twonoonye eri Mukama.” Olwo Samwiri nga ye mukulembeze era omulamuzi wa Isirayiri e Mizupa.

7 cAwo Abafirisuuti bwe baawulira nga Abayisirayiri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abafuzi b’Abafirisuuti ne babalumba. Abayisirayiri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti. 8 dNe bagamba Samwiri nti, “Tolekeraawo kutukaabiririra eri Mukama Katonda waffe, atulokole okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.” 9 eAwo Samwiri n’addira omwana gw’endiga oguyonka n’aguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, n’akaabirira Mukama ku lwa Isirayiri, Mukama n’amuddamu.

10 fKu lunaku olwo Samwiri bwe yali ng’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, Abafirisuuti ne basembera okulwanyisa Isirayiri, naye Mukama n’abwatuka okubwatuka okw’amaanyi, Abafirisuuti ne batya nnyo, era ne badduka Abayisirayiri. 11Abasajja Abayisirayiri ne bava e Mizupa ne bagoba Abafirisuuti, ne bagenda nga babatta okutuukira ddala ku Besukali.

12 gAwo Samwiri n’addira ejjinja n’aliteeka wakati wa Mizupa ne Seni, ekifo ekyo n’akituuma Ebenezeri
Ebenezeri kitegeeza ejjinja ery’obuyambi
, ng’agamba nti, “Mukama atuyambye okutuusa kaakano.”
13 iAbafirisuuti ne bawangulwa, ne bataddayo nate kulumba Isirayiri. Era ennaku zonna eza Samwiri, omukono gwa Mukama ne gunyigiriza Abafirisuuti. 14Abayisirayiri ne beddiza ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali babawambyeko okuva mu Ekulooni okutuuka e Gaasi, ate era Isirayiri n’anunula ebitundu ebyali biriraanyeewo okuva mu buyinza bw’Abafirisuuti. Ne waba okutabagana wakati wa Isirayiri n’Abamoli
Erinnya Abamoli likozesebwa okutegeeza Abakanani bonna
.

15 kSamwiri n’alamula era n’afuga Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwe. 16Buli mwaka n’agendanga e Beseri, n’e Girugaali n’e Mizupa
Beseri, ne Girugaali ne Mizupa bye bibuga ebisatu mu ssaza lya Benyamini ebifo awaasinzizibwanga (laba Yos 4:19)
mu mpalo ng’alamula Isirayiri mu bifo ebyo byonna.
17 mN’oluvannyuma yakomangawo e Laama, amaka ge gye gaabeeranga, nayo n’alamulirayo Isirayiri. N’azimbirayo Mukama ekyoto.

Copyright information for LugEEEE